Omuli Kabaka wa Isirayiri
21Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli. 22Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka.
23Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza. 24Yagula olusozi lw’e Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, n’aluzimbako ekibuga, n’akituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi.
25Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka. 26N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 27Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, n’ebyobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 28Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya; Akabu n’amusikira, n’alya obwakabaka.


