Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

1Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,

bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu

eririraanye ensi etiisa.

2Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:

alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.

Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!

Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

3Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,

n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;

nnyiize olw’ebyo bye mpulira,

bye ndaba bimazeemu amaanyi.

4Omutima gwange gutya,

Entiisa endetera okukankana;

Akasendabazaana ke nnali njayaanira,

kanfukidde ekikankano.

5Bateekateeka olujjuliro,

bayalirira ebiwempe,

ne balya, ne banywa!

Mugolokoke mmwe abakulembeze,

musiige engabo amafuta.

6Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi

akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.

7Bw’alaba amagaali

n’ebibinja by’embalaasi,

n’abeebagazi ku ndogoyi

oba abeebagazi ku ŋŋamira

yeekuume,

era yeegendereze.”

8Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,

buli kiro mbeera ku mulimu gwange.

9Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,

ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.

Era ayanukula bw’ati nti,

‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.

Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna

bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,

mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.