Zirisanze Eggwanga Ejjeemu
1“Zibasanze abaana abajeemu,
Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza
ne batta omukago awatali Mwoyo wange
ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
2“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
okuba obuddukiro.
3Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5buli muntu aliswazibwa
olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
6Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:
Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku
ne batawaanyizibwa
mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,
erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa
nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,
n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira
nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
Kyenva muyita Lakabu
ataliiko kyayinza kukola.
8Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
okiwandiike ku mizingo,
kibabeererenga obujulizi
obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
9Weewaawo bano bantu bajeemu,
baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10Bagamba abalabi nti,
“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”
N’eri bannabbi boogera nti,
“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.
Mututegeeze ebitusanyusa,
mulagule ebituwabya.
11Muve mu kkubo lino,
mukyame muve ku luguudo luno,
mulekeraawo okututegeeza
ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
12Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17Abantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”
18Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
19Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27Laba, erinnya lya Mukama liva wala
n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
omukka gwa Mukama
gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.


