Oluyimba olw’Okutendereza Mukama
10Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.


