Ennaku ez’Okwawulibwa

30Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.

31Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ 32Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. 33Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. 34Mukama alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. 35Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.