Bakabona bye Basaana Okwegendereza
8Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, 9“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. 10Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; 11era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.”


