Ekizimbulukusa n’Omunnyo

11“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. 12Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 13Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.

14“ ‘Bw’onooleetanga eri Mukama ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. 15Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 16Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.