Omulabe Asemberera Yerusaalemi
10Temukibuulira mu Gaasi,
temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
mu Besuleyafula.
11Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
kubanga tokyalinayo buddukiro.
12Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
eri bakabaka ba Isirayiri.
15Mmwe abantu b’omu Malesa,
ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
alijja mu Adulamu.
16Mukungubage, n’emitwe mugimwe
olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
1Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
2Beegomba ebyalo ne babitwala,
ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
ne bamubbako ebyobusika bwe.
3Mukama kyava agamba nti,
“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
4Olwo abantu balikusekerera;
Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
5Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
aligabanyaamu ettaka ku bululu.
6Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
tewali kabi kagenda kututuukako.”
7Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
8Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
9Bakazi b’abantu bange mubagoba
mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
oguva eri Katonda.
10Muyimuke mugende,
kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
“Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
12“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
ekifo kirijjula abantu.
13Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
Mukama alibakulembera.”


