Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
1Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3Aliramula amawanga
atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5Newaakubadde nga amawanga gonna
galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
Katonda waffe emirembe n’emirembe.


