32Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo.