Select a Verse

Okuzikirira kwa Isirayiri

1Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,

emifuubeeto gikankane.

Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,

n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.

Tewaliba n’omu awona.

2Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,

omukono gwange gulibaggyayo.

Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu

ndibawanulayo.

3Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,

ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.

Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja

ndiragira ogusota ne gubalumirayo.

4Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,

era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.

Ndibasimba amaaso

ne batuukibwako bibi so si birungi.”

5Era Mukama, Mukama ow’Eggye,

akwata ku nsi n’esaanuuka,

abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,

ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira

ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;

6oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,

omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,

ayita amazzi g’ennyanja,

n’agayiwa wansi ku lukalu,

Mukama lye linnya lye.

7Mukama ayongera n’agamba nti,

“Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?

Ssabaggya mu nsi y’e Misiri

nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,

n’Abasuuli e Kiri?”

Essuubi lya Isirayiri

8“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,

gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.

Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya

okuva ku nsi.

Kyokka sirizikiririza ddala

ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”

bw’ayogera Mukama.

9“Kubanga ndiwa ekiragiro,

ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa

mu mawanga gonna,

ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta

era tewaliba kayinja akaligwa wansi.

10Aboonoonyi bonna mu bantu bange,

balifa kitala,

abo bonna aboogera nti,

‘Akabi tekalitutuukako.’ ”

Isirayiri Edda Obuggya

11“Mu biro ebyo ndizzaawo

ennyumba ya Dawudi eyagwa

era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,

ne nzizaawo ebyali amatongo,

ne biba nga bwe byabeeranga,

12balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo

n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”

bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.

13“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“akungula lw’alisinga asiga,

n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.

Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,

n’akulukuta okuva mu busozi.

14Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,

ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.

Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,

era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.

15Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,

era tebaliggibwa nate

mu nsi gye nabawa,”

bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.