Select a Verse
Okubonerezebwa kwa Isirayiri
1Tosanyuka ggwe Isirayiri;
tojaguza ng’amawanga amalala,
kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo,
weegomba empeera eya malaaya
ku buli gguuliro.
2Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa,
ne wayini omusu alibaggwaako.
3Tebalisigala mu nsi ya Mukama;
Efulayimu aliddayo e Misiri
n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
4Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,
so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.
Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,
ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.
Emmere eyo eriba yaabwe bo,
so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
5Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa,
ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
6Ne bwe baliwona okuzikirira,
Misiri alibakuŋŋaanya,
ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
7Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
8Nnabbi awamu ne Katonda wange
ye mukuumi wa Efulayimu,
newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye,
n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
9Boonoonye nnyo nnyini
nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’ababonereza olw’ebibi byabwe.
10We nasangira Isirayiri,
kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.
Bwe nalaba bajjajjammwe,
kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.
Naye bwe bajja e Baalipyoli,
beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,
ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
11Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12Ne bwe balikuza abaana baabwe,
ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
bwe ndibavaako.
13Nalaba Efulayimu
ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
abaana be ne battibwa.
14Bawe Ayi Mukama Katonda.
Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
obawe n’amabeere amakalu.
15Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16Efulayimu balwadde,
emirandira gyabwe gikaze,
tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
17Katonda wange alibavaako
kubanga tebamugondedde;
baliba momboze mu mawanga.


