Select a Verse

Katonda Agumya Isirayiri

1“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,

amawanga gaddemu amaanyi.

Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.

Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.

2“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,

eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?

Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,

n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,

obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro

ebitwalibwa empewo?

3N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo

ebigere bye gye by’ali bitayitanga.

4Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu

okuva ku lubereberye?

Nze Mukama ow’olubereberye

era ow’enkomerero, nze wuuyo.”

5Ebizinga by’alaba ne bitya;

n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.

6Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;

“Guma omwoyo!”

7Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,

n’oyo ayooyoota n’akayondo

n’agumya oyo akuba ku luyijja

ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”

era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.

Isirayiri Yalondebwa Katonda

8“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,

Yakobo gwe nalonda,

ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,

9ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi

ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,

ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’

nze nakulonda so sikusuulanga:

10Totya kubanga nze ndi wamu naawe;

tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.

Nnaakuwanga amaanyi.

Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11“Laba, abo bonna abakukambuwalidde

balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.

Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa

ne baggwaawo.

12Olibanoonya abo abaakukijjanyanga

naye n’otobalaba.

Abo abaakulwanyisanga

baliggwaamu ensa.

13Kubanga nze Mukama Katonda wo

akukwata ku mukono ogwa ddyo,

nze nkugamba nti,

Totya nze nzija kukuyamba.

14Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi

totya, ggwe Isirayiri,

kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,

Omutukuvu wa Isirayiri.

15“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,

ekyogi eky’amannyo amangi.

Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,

obusozi ne mubufuula ebisusunku.

16Oliziwewa empewo n’ezifuumula,

embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.

Era naawe olisanyukira mu Mukama,

era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”

Mukama Ayimusa Isirayiri

17“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi

ne baganoonya naye ne gababula,

ate nga ennimi zaabwe zikaze,

nze Mukama ndibawulira,

nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.

18Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,

era n’ensulo wakati mu biwonvu.

Olukoola ndirufuula ennyanja,

n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.

19Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,

omumwanyi n’omuzeyituuni,

ate nsimbe mu ddungu

enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.

20Abantu balyoke balabe bamanye,

balowooze

era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,

nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”

Mukama Asoomooza Bakatonda Abalala

21Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,

“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.

Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.

22“Baleete bakatonda bwabwe

batubuulire ebigenda okubaawo.

Batubuulire n’ebyaliwo emabega,

tusobole okubimanya,

n’okubirowoozaako

n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.

23Mutubuulire ebigenda okubaawo

tulyoke tumanye nga muli bakatonda.

Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi

tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.

24Laba, temuliiko bwe muli

ne bye mukola tebigasa.

Abo ababasinza bennyamiza.

25Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,

abeera mu buvanjuba.

Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,

abe ng’omubumbi asamba ebbumba.

26Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,

eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’

Tewali n’omu yakyogerako,

tewali n’omu yakimanya

era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.

27Nasooka okubuulira Sayuuni

era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.

28Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.

Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,

tewali n’omu addamu bwe mbuuza.

29Laba, bonna temuli nsa!

Bye bakola byonna tebigasa.

Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”