Select a Verse

1Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.

Tunula olabe ennaku yaffe.

2Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,

n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.

3Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,

ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.

4Tusasulira amazzi ge tunywa;

n’enku tuteekwa okuzigula.

5Abatucocca batugobaganya;

tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.

6Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli

okutufuniranga ku mmere.

7Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,

naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.

8Abaddu be batufuga,

tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.

9Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,

olw’ekitala ekiri mu ddungu.

10Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro

olw’enjala ennyingi.

11Abakyala ba Sayuuni,

n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.

12Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe

n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.

13Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,

n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.

14Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,

n’abavubuka tebakyayimba.

15Emitima gyaffe tegikyasanyuka,

n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.

16Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.

Zitusanze kubanga twonoonye!

17Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,

era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.

18Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,

ebibe kyebivudde bitambulirako.

19Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;

entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.

20Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?

Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.

21Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,

otuzze buggya ng’edda;

22wabula ng’otusuulidde ddala,

era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.