Select a Verse
Omugaso gw’Erinnya Eddungi
1Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
2Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
3Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
4Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
5Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
6Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
7Omugagga afuga abaavu,
naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
8Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
9Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
10Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
11Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
12Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
13Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
14Malaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.
15Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
16Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
17Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19Mbikumanyisa leero ggwe,
obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
era ebikuwa okumanya?
21Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
22Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23Kubanga Mukama alibawolereza,
n’abo ababanyaga alibanyaga.
24Tokwananga muntu wa busungu,
oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25oleme okuyiga amakubo ge
ne weesuula mu mitawaana.
26Teweegattanga ku abo abeeyama,
newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27Bw’oliba nga tolina kya kusasula
ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
28Tojjululanga nsalo
bajjajjaabo gye bassaawo edda.
29Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.


