Select a Verse
EKITABO I
Zabbuli 1–41
Zabbuli 1
1Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.


