Select a Verse

Zabbuli 100

Zabbuli ey’okwebaza.

1Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.

2Muweereze Mukama n’essanyu;

mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.

3Mumanye nga Mukama ye Katonda;

ye yatutonda, tuli babe,

tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

4Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,

ne mu mpya ze n’okutendereza;

mumwebaze mutendereze erinnya lye.

5Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;

n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.