Select a Verse
Zabbuli 103
Zabbuli Ya Dawudi.
1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3Asonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.
6Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
7Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9Taasibenga busungu ku mwoyo,
era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12Ebibi byaffe abituggyako
n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
13Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16empewo ekifuuwa, ne kifa;
nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.
19Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
20Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
era abagondera ekigambo kye.
21Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
ebiri mu matwale ge gonna.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.


