Select a Verse

Zabbuli 105

1Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;

amawanga gonna mugategeeze by’akoze.

2Mumuyimbire, mumutendereze;

muyimbe ku byamagero bye.

3Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;

emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.

4Munoonye Mukama n’amaanyi ge;

mumunoonyenga ennaku zonna.

5Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,

ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;

6mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be

mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.

7Ye Mukama Katonda waffe;

ye alamula mu nsi yonna.

8Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,

kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,

9ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,

era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.

10Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,

n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,

11“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani

okuba omugabo gwo.”

12Bwe baali bakyali batono,

nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,

13baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,

ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.

14Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;

n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,

15“Abalonde bange,

ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16Yaleeta enjala mu nsi,

emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.

17N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,

ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,

18ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,

obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,

19okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,

okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.

20Kabaka n’atuma ne bamusumulula;

omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.

21Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,

n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;

22okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,

n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;

Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.

24Mukama n’ayaza nnyo abantu be;

ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,

25n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,

ne basalira abaweereza be enkwe.

26Yatuma abaweereza be Musa

ne Alooni, be yalonda.

27Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;

ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.

28Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,

kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.

29Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,

ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.

30Ensi yaabwe yajjula ebikere,

ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.

31Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,

n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.

32Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;

eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.

33Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,

n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.

34Yalagira, enzige ne zijja

ne bulusejjera obutabalika muwendo.

35Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,

na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.

36N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,

nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.

37Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;

era bonna baali ba maanyi.

38Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,

kubanga baali batandise okubatiira ddala.

39Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,

n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.

40Baamusaba, n’abaweereza enkwale

era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.

41Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,

ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

42Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu

kye yawa omuweereza we Ibulayimu.

43Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,

abalonde be nga bayimba olw’essanyu.

44Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,

ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;

45balyoke bakwatenga amateeka ge,

era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.