Select a Verse

Zabbuli 11

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Mu Mukama mwe neekweka;

ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,

“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?

2Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe

egy’obusaale,

balase abalina omutima

omulongoofu.

3Emisingi nga gizikirizibwa,

omutuukirivu ayinza kukola ki?”

4Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;

Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.

Amaaso ge gatunuulira

era geetegereza abaana b’abantu.

5Mukama akebera abatuukirivu

naye omutima gwe gukyawa ababi,

n’abakola eby’obukambwe.

6Ababi alibayiwako

amanda ag’omuliro;

n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

7Kubanga Mukama mutuukirivu

era ayagala eby’obutuukirivu;

abo abalongoofu be balimulaba.