Select a Verse

Zabbuli 111

1Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,

mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

2Mukama by’akola bikulu;

bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.

3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,

n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.

4Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,

Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

5Agabira abamutya emmere;

era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

6Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;

n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.

7By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;

n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,

8manywevu emirembe gyonna;

era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.

9Yanunula abantu be;

n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.

Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera

era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.

Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.