Select a Verse
Zabbuli 127
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
1Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
3Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.


