Select a Verse

Zabbuli 139

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,

n’otegeera byonna ebiri munda yange.

2Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;

era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.

3Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.

Omanyi amakubo gange gonna.

4Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,

okimanya nga sinnaba na kukyogera.

5Ondi mu maaso n’emabega,

era ontaddeko omukono gwo.

6Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,

era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

7Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?

Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?

8Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;

bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.

9Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala

ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;

10era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,

omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.

11Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,

n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”

12Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,

ekiro kyakaayakana ng’emisana;

kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

14Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

15Wammanya nga ntondebwa,

bwe nakolerwa mu kyama;

bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.

16Wandaba nga si natondebwa.

Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera

zawandiikibwa mu kitabo kyo.

17By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!

Omuwendo gwabyo munene!

18Singa ngezaako okubibala

bisinga omusenyu obungi.

Ne bwe ngolokoka mu makya

oba okyandowoozaako.

19Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;

abasajja abassi b’abantu banveeko.

20Abantu abo bakwogerako bibi;

bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.

21Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;

abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.

22Mbakyayira ddala nnyo,

era mbayita balabe bange.

23Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.

Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

24Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;

era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.