Select a Verse
Zabbuli 140
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
1Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10Amanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13Abatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.


