Select a Verse

Zabbuli 18

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

1Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

2Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,

ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;

ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.

3Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,

era amponya eri abalabe bange.

4Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;

embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.

5Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;

n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.

6Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;

ne nkaabirira Katonda wange annyambe.

Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;

omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

7Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;

ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,

kubanga yali asunguwadde.

8Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.

Omuliro ne guva mu kamwa ke,

ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.

9Yayabuluza eggulu n’akka wansi;

ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.

10Yeebagala kerubi n’abuuka,

n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.

11Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga

okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.

12Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,

n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.

13Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;

mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.

14Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;

n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.

15Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa

n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula

olw’okunenya kwo Ayi Mukama

n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,

n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.

17Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,

abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.

18Bannumba nga ndi mu buzibu,

naye Mukama n’annyamba.

19N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,

kubanga yansanyukira nnyo.

20Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,

ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.

21Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,

ne sikola kibi eri Katonda wange.

22Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,

era ne siva ku biragiro bye.

23Sisobyanga mu maaso ge

era nneekuuma obutayonoona.

24Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,

era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,

n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.

26Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,

n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.

27Owonya abawombeefu,

naye abeegulumiza obakkakkanya.

28Okoleezezza ettaala yange;

Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.

29Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;

nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30Katonda byonna by’akola bigolokofu;

Mukama ky’asuubiza akituukiriza;

era bwe buddukiro

bw’abo bonna abamwekwekamu.

31Kale, ani Katonda, wabula Mukama?

Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?

32Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.

33Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,

n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.

34Anjigiriza okulwana entalo,

ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.

35Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;

era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;

weetoowazizza n’ongulumiza.

36Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,

obukongovvule bwange ne butanuuka.

37Nagoba abalabe bange embiro,

ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.

38Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,

ne mbalinnyako ebigere byange.

39Ompadde amaanyi ag’okulwana;

abalabe bange ne banvuunamira.

40Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,

ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.

41Baalaajana naye tewaali yabawonya;

ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.

42Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;

ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.

43Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;

n’onfuula omufuzi w’amawanga.

Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.

44Olumpulira ne baŋŋondera,

bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.

45Bannamawanga baggwaamu omutima

ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.

46Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;

era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.

47Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi

era akakkanya amawanga ne ngafuga.

Amponyeza abalabe bange.

48Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,

n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.

49Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,

era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.

50Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,

amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,

eri Dawudi n’eri ezzadde lye.