Select a Verse
Zabbuli 26
Zabbuli ya Dawudi.
1Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.


