Select a Verse

Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

1Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,

so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.

2Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,

bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

3Weesigenga Mukama okolenga bulungi,

onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.

4Sanyukiranga mu Mukama,

anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

5By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;

mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.

6Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,

n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

7Siriikirira awali Mukama,

ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.

Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

8Tonyiiganga era weewale ekiruyi;

teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.

9Kubanga ababi balisalibwako,

naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;

wadde mulibanoonya temulibalabako.

11Naye abateefu baligabana ensi

ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12Ababi basalira abatuukirivu enkwe,

ne babalumira obujiji.

13Naye Mukama asekerera ababi,

kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14Ababi basowoddeyo ebitala byabwe

ne baleega emitego gy’obusaale,

batte abaavu n’abali mu kwetaaga

era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.

15Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,

n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16Ebitono omutuukirivu by’alina

bisinga obugagga bw’ababi abangi;

17kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,

naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,

era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.

19Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,

ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20Naye ababi balizikirira;

abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,

era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21Ababi beewola, ne batasasula;

naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.

22Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,

naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,

aluŋŋamya entambula ye.

24Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,

kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25Nnali muto kati nkaddiye,

naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,

wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.

26Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.

Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,

munaabanga balamu emirembe gyonna.

28Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,

n’abeesigwa be taabaabulirenga.

Banaalabirirwanga emirembe gyonna;

naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.

29Abatuukirivu baligabana ensi

ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,

n’olulimi lwe lwogera bya mazima.

31Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,

era ebigere bye tebiseerera.

32Omubi ateega omutuukirivu

ng’anoonya okumutta,

33naye Mukama taliganya babi kuwangula,

wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,

otambulirenga mu makubo ge;

naye alikugulumiza n’akuwa ensi;

ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,

ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,

36naye teyalwawo n’abula,

ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;

obulamu bwe bunajjulanga emirembe.

38Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;

ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;

ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.

40Mukama abayamba n’abalokola;

abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,

kubanga gy’ali gye baddukira.