Select a Verse

Zabbuli 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

1Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,

n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.

Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange

nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”

2Naye bwe nasirika

ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,

ate obuyinike bwange ne bweyongera.

3Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.

Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;

kyenava njogera nti:

4“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,

n’ennaku ze nsigazza;

ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”

5Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.

Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.

Buli muntu, mukka bukka.

6Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.

Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.

Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

7Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.

8Ondokole mu bibi byange byonna,

abasirusiru baleme okunsekerera.

9Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;

kubanga kino ggwe wakikola.

10Olekere awo okunkuba,

emiggo gy’onkubye giyitiridde!

11Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,

omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.

Ddala omuntu mukka bukka.

12Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,

owulire okukaaba kwange onnyambe.

Tonsiriikirira nga nkukaabirira.

Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,

nga bajjajjange bonna bwe baali.

13Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,

ne mbulirawo ddala.