Select a Verse

Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,

n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,

2n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,

n’annyinyulula mu bitosi,

n’anteeka ku lwazi olugumu

kwe nyimiridde.

3Anjigirizza oluyimba oluggya,

oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.

Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama

n’okumwesiganga.

4Balina omukisa

abo abeesiga Mukama,

abatagoberera ba malala

abasinza bakatonda ab’obulimba.

5Ayi Mukama Katonda wange,

otukoledde eby’ewunyisa bingi.

Ebintu by’otuteekeddeteekedde

tewali ayinza kubikutegeeza.

Singa ngezaako okubittottola,

sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

6Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.

Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,

tobyetaaga.

Naye onzigudde amatu.

7Kyenava njogera nti, “Nzuuno,

nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”

8Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,

kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

9Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.

Sisirika busirisi,

nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.

10Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,

naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.

Abantu nga bakuŋŋaanye,

sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,

amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.

12Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;

ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;

bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,

mpweddemu amaanyi.

13Onsasire ayi Mukama ondokole;

Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;

n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.

15Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.

16Naye abo abakunoonya basanyuke

era bajaguze;

abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,

Mukama agulumizibwenga.”

17Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.

Mukama ondowoozeeko.

Tolwawo, Ayi Katonda wange.

Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.