Select a Verse

Zabbuli 5

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

1Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;

olowooze ku kunyolwa kwange.

2Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,

Ayi Kabaka wange era Katonda wange:

kubanga ggwe gwe nsaba.

3Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;

buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,

ne nnindirira onziremu.

4Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:

n’ebitasaana tobigumiikiriza.

5Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:

kubanga okyawa abakola ebibi bonna.

6Abalimba bonna obazikiriza;

Mukama akyawa abatemu

era n’abalimba.

7Naye olw’ekisa kyo ekingi,

nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:

ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu

n’okutya okungi.

8Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,

olw’abalabe bange,

ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;

emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.

Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:

akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

10Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;

baleke bagwe mu mitego gyabwe.

Bagobe

kubanga baakujeemera.

11Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;

ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,

obakuumenga,

abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;

era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.