Select a Verse

Zabbuli 56

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

1Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;

buli lunaku bannumba n’amaanyi.

2Abalabe bange bannondoola,

bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

3Buli lwe ntya,

neesiga ggwe.

4Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,

ye Katonda gwe neesiga; siityenga.

Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

5Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;

ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.

6Beekobaana ne bateesa,

banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;

nga bannindirira banzite.

7Tobakkiriza kudduka ne bawona;

mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

8Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;

amaziga gange gateeke mu ccupa yo!

Wagawandiika.

9Bwe nkukoowoola,

abalabe bange nga badduka.

Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;

Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;

11Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.

Abantu bayinza kunkolako ki?

12Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;

ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.

13Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.

Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;

ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda

mu musana nga ndi mulamu?