Select a Verse
Zabbuli 58
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.
1Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4Balina obusagwa ng’obw’omusota;
bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5n’etawulira na luyimba lwa mukugu
agisendasenda okugikwata.
6Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9Nga n’entamu tennabuguma,
alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11Awo abantu bonna balyogera nti,
“Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”


