Select a Verse

Zabbuli 66

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

1Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.

2Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.

Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.

3Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!

Olw’amaanyi go amangi

abalabe bo bakujeemulukukira.

4Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,

bakutendereza,

bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

5Mujje mulabe Katonda ky’akoze;

mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!

6Ennyanja yagifuula olukalu.

Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,

kyetuva tujaguza.

7Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;

amaaso ge agasimba ku mawanga,

ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

8Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;

eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.

9Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,

n’ataganya bigere byaffe kuseerera.

10Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,

n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.

11Watuteeka mu kkomera,

n’otutikka emigugu.

12Waleka abantu ne batulinnyirira;

ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,

n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,

ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,

14nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;

akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.

15Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,

mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;

mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,

mbategeeze ebyo by’ankoledde.

17Namukaabirira n’akamwa kange,

ne mutendereza n’olulimi lwange.

18Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,

Mukama teyandimpulirizza;

19ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.

20Katonda atenderezebwenga,

atagobye kusaba kwange,

wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!