Select a Verse
Zabbuli 71
1Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
8Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
12Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
13Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
14Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
16Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
20Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
22Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
24Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.


