Select a Verse
Zabbuli 78
Oluyimba lwa Asafu.
1Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3ebintu bye twawulira ne tumanya;
ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4Tetuubikisenga baana baabwe,
naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5Yawa Yakobo ebiragiro,
n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
babiyigirizenga abaana baabwe,
6ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
n’abaana abalizaalibwa,
nabo babiyigirize abaana baabwe,
7balyoke beesigenga Katonda,
era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
naye bagonderenga ebiragiro bye.
8Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.
9Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
naye ne badduka mu lutalo,
10tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11Beerabira ebyo bye yakola,
n’ebyamagero bye yabalaga.
12Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13Ennyanja yajaawulamu,
amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14Emisana yabakulemberanga n’ekire,
n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15Yayasa enjazi mu ddungu,
n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16Yaggya ensulo mu lwazi,
n’akulukusa amazzi ng’emigga.
17Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20Weewaawo yakuba olwazi,
amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
Anaawa abantu be ennyama?”
21Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22Kubanga tebakkiriza Katonda,
era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23Naye era n’alagira eggulu;
n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
okwetooloola eweema zaabwe.
29Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.
32Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
ne beenenya ne badda gy’ali.
35Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
n’abasonyiwanga,
n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
ng’empewo egenda n’etedda!
40Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41Ne baddamu ne bakema Katonda,
ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42Tebajjukira buyinza bwe;
wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
ne batanywa mazzi gaagyo.
45Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
ne bulusejjera.
47Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50Yabalaga obusungu bwe,
n’atabasonyiwa kufa,
n’abasindikira kawumpuli.
51Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55Yagobamu amawanga nga balaba,
n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56Naye era ne bakema Katonda;
ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60N’ava mu weema ey’omu Siiro,
eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
n’asunguwalira omugabo gwe.
63Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66N’akuba abalabe be ne badduka;
n’abaswaza emirembe gyonna.
67Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68naye n’alonda ekika kya Yuda,
lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70Yalonda Dawudi omuweereza we;
n’amuggya mu kulunda endiga.
71Ave mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.


