Select a Verse

Zabbuli 94

1Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,

ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.

2Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,

osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.

3Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?

Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

4Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;

abakola ebibi bonna beepankapanka.

5Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,

babonyaabonya ezzadde lyo.

6Batta nnamwandu n’omutambuze;

ne batemula ataliiko kitaawe.

7Ne boogera nti, “Katonda talaba;

Katonda wa Yakobo tafaayo.”

8Mwerinde mmwe abantu abatategeera.

Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?

9Oyo eyatonda okutu tawulira?

Oyo eyakola eriiso talaba?

10Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?

Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?

11Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;

amanyi nga mukka bukka.

12Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,

gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;

13omuwummuzaako mu kabi kaalimu,

okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.

14Kubanga Mukama talireka bantu be;

talyabulira zzadde lye.

15Aliramula mu butuukirivu,

n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?

Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?

17Singa Mukama teyali mubeezi wange,

omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.

18Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”

Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.

19Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,

okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,

obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?

21Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;

atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.

22Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;

ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.

23Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,

n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;

Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.