Select a Verse

Zabbuli 99

1Mukama afuga,

amawanga gakankane;

atuula wakati wa bakerubi,

ensi ekankane.

2Mukama mukulu mu Sayuuni;

agulumizibwa mu mawanga gonna.

3Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.

Mukama mutukuvu.

4Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.

Onywezezza obwenkanya;

era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya

era bituufu.

5Mumugulumize Mukama Katonda waffe;

mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.

Mukama mutukuvu.

6Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;

ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;

baasabanga Mukama

n’abaanukula.

7Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;

baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

8Ayi Mukama Katonda waffe,

wabaanukulanga;

n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,

newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.

9Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,

mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,

kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.