Select a Verse

Mukama Alirabirira Yuda

1Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;

kubanga Mukama y’akola ebire

enkuba n’etonnya,

olwo buli muntu n’afuna ebirime.

2Kubanga bakatonda abalala

n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;

ne baloota ebirooto eby’obulimba,

ne bagumya abantu eby’obulimba.

Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,

nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.

3“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba

era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,

kubanga Mukama ow’Eggye ajja

kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,

era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.

4Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,

muveemu n’enkondo enyweza weema,

muveemu n’omutego ogw’akasaale

era muveemu na buli mufuzi yenna.

5Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo

abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.

Kubanga Mukama ali nabo,

balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.

6“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi

era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,

ndibakomyawo

kubanga mbakwatiddwa ekisa.

Balibeera

nga be sseegaanangako

era ndibawulira

kubanga nze Mukama Katonda waabwe.

7Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,

emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.

Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,

omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.

8Ddala ndibawonya

ne mbakuŋŋaanya.

Ddala ndibanunula,

baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.

9Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,

naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.

Bo n’abaana baabwe baliba balamu

era ne bakomawo gye ndi.

10Ndibakomyawo okuva mu Misiri,

mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.

Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni

ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.

11Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;

ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,

n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.

Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu

n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.

12Ndibafuula ba maanyi mu Mukama

era nabo balitambulira mu linnya lyange,”

bw’ayogera Mukama.